Twajja ku kyaala

Tuli bagenyi kunno, kunno kunno okwa jjaja nsi, tuli bagenyi

Sindika… sindika…bwe batwaniriza

Nga  olwo nyoko atikulwa  eby’omwezi omwenda

Laba bye yalya nga ‘asikina kati wunno afulumya asinda

 

Osooka ku kabba obugenyi bwo okukakasibwa, era gwe akabba, kulika

Kulika kulika nyo…banji banno olugendo lwe’nno te balutonda ku lumalako.

Omuto ayigira ku mukulu; ekyo tokikola kola bwoti…kiri kirungi…ekyo kibbi

kileke…manye ki ndeke ki…otegedde gwe ana nyumirwa obugenyi

 

Okunyumirwa kwo nyumirwa… ebya kunno, bya kuffa kuleka kunno!

Atte si buli mugenyi nti anyumirwa, so no kunyumirwa si kuli mubungi bwa bintu

atta alina kantu, na alina enkummu, kubugenyi bunno obulamu kye kikulu… obulamu

kye kikulu… obulamu kye kikulu… obulamu kye kikulu

 

Tuli bagenyi kunno, kunno kunno okwa jjaja nsi, tuli bagenyi

Advertisements

Kiki Ekyatta Museveni!

Kyali kitalo, kitalo nyo ekya Museveni okuffa…kyalo kitalo, kitalo nyo…
Ye banange, kiki ekyatta Museveni!

Yatandika ali muto okukola ebya’afayo.
Aba’aliyo batugamba nti ne mubutobwe teyali wa bulijjo.
Yakula yemanyi, nga buli kyeyakolanga kyali kya kutikiriiza ekyo ye kyeli ye manyi ko
…so ekitali kya bulyommu…wabula ekya omu no’omu
…kyo ekya Museveni wamma, kyaali kyo omu

Wuyo wuyo mubuyeekera, nanti ebya kalulu ko mu kinana bya mulema kubba munne kawenkene Obote yali tanakoowa buwomi bwa ntebbe…
Olutalo lwe mundu…bwe du, du, du…nkumu balumaliriza baffu…ko’ eyali Ssabaduyi Museveni… nsi egula mirambo…ngali ku ntiko

Myaka enna gimala (*2)…ekizibu kya Africa be bakulembeze baffe okulemera mubuyinza…tu two mugwe kyendda, kyendda mu mukaaga, era yomu, nkumi biri mu gumu, era yomu ono, “ekizibu kya Africa be bakulembeze baffe okulemera mu buyinza.”

Ehh…Ehh…tabikyusiza…ah…ah… (olwo’ananagira)…nze nali ntegeza bali abe’elemeza mubuyinza…gumu, gumu gwoka nga maliriza…gumu gwoka gwenbasaba…

Gwe waviira olumbe lwe kisanja!…wuuwi woowe (*2)…olumbe lwe kisanja lwatta Museveni!…Abataagala tubejjeko!…Ssematekka tumukyuse obuwayiiro!…Nze ndi wa kufuga awatali kommo!
Eyali amanyi ekizibu, labba nafuka ekizibu…oooo…oh

Kitalo, kitalo nyo…twagirwa olumbe lwe kisanja lunno olulemeza no muffu mubuyinza…kitalo, kitalo nyo
Ye Museveni yaffa, yaffa dda, yafiira dala…olumbe lwe kisanja olutakoma lwamutta.

Engeri y’ omuddugavu eya ssoma

Omuddugavu eya ssoma…Omuwulira ye’waana!

Nanti nze na ssoma,
na ssomera gunddi enno ne genda gindde eri…simanya primary siikuulu, college siikuulu, nga kwotadde no okutikirwa digiree mukiino ne mukiiri okuva mu yinivastee ye gunddi eri

Si muzungu nno, naye mukwoogera oluzungu a kiira ne bbali abazungu bakaluleeta
Kwo okuleeta, omuzungu ya leeta…o’tya… gwe okutwelabiza e’byedda!
…tweyerabbira daa… nti okwejjako obuwangwa kubba kwetta…
Naye ery’ono omuddugavu e’ya sooma, e’byo! E’byedda! To’leeta

My name is this, my name is that, am called this, am called that. Omuwulidde!
Ya’sooma nnyo, ye’yiita manya ga bba merika na ga bba angeleza
…nti gali aga e’nganda ze ne bba jjaja be ga’museeza.
To bi mugambe…kumulembe gunno bulyomu ye yiyiiza bibbye
E’bya bba jjaja be ne’nganda ze! To’munyumiza

Bwasanzze bwa yambala; naye abange okusooma kunno!
Kabbe musajja kabbe mukazzi, kegubbe mukolo kakubbe kubba ndongo,
ye omudagavu eya sooma tayawuula musonno…tekyali kyoli obba ky’ono? Oky’omusajja kya mukazzi, okyo mukazzi kya musajja…gwe musonno…ayagala kiriwo, agenda na’kiriwo

Emirimu gya kalamu gye yenyumirizaamu, eya sooma akoola attudde nga a’sowolodde ku computa…tatata ta tatata ta…gwa kola na kutambuza mpapula
e’bya mukono mukono, ngamba bbiri ebya biva muntuyo, bya bbali a’batasooma
so onno o’wengeri… omudugavu eya sooma!

SINGA

Singa ya fukka singa…singa singa yandi singa!

Ommuto eya’kalabba no’omukulu, okukula kwetta…singa singa yandi singa!

Omubbi nge’ekudde ne gwo’labba omulungi awoma nge’ esente…singa singa yandi singa

Ba nasomma ne ba ‘obutasomma buluma bukulu…singa singa yandi singa

Omudugavu no muzungu gwe ye gomba obusufu…singa singa yandi singa

Munakyalo attenda ekibugga okwaka, amaalo aga mujjudde ne munakibugga, Kampala sibizimbe…singa singa yandi singa

Muna dinni zinno eza letebwa ne munyenya nsasi, bweza bwa ba jjajja…singa singa yandi singa

Omugaga byandala no muyala ayandala anonya ekyokulya…singa singa yandi singa

Malaya kutala agula ya’atwala ne ya guma…muka mwami e’waka… singa singa yandi singa

Bonna bonna ne fena fena…singa yafuka singa…singa singa yandi singa

Ebikolimo bya Sitella

Ebikolimo bya Sitella

images - Stella Nyanzi

Ebikolimo bye nkoko tebiita kamunye, naye ebya Sitella, kabulakata bi giite!
Eee ngamba onno Sitella omukugu… kugu kugu.

Lwali olwo nga abulganda mbalabila nalongo,
Yawaza waza nga bulijjo ku kasozi kabayivu e Makerere emilimu jje atelle akole
Nga nanti bwati munno mwajja ako akatinni tinni abalongo nabalala awaka ke bayiita ekyokulya.

Kikikino! Kikikino kyendebba! Kufullo kukikubo ekigenda mu bibiina, langi ya…kubisenga alanda
Bwadda enno bwadda eli (*2)…olwo bwe yeyogereza
Kulunno agya kundabba(*2)…Mamdani yatankudde baffu… Kulunno agya kundabba!

Ngo olwo olunabba lubadde, abasoomi bakunganye nga ne polisi kwotadde
Owaye kakana tuteesa nga abayivu
Neda, Neda, Mnmn! Mnmn!…
Polisi ya Uganda temanyi munaku, polisi ya Uganda teyamba baavu
Nze mundeke ndi mukazi munaku

Bwadda enno, bwadda eli(*2)…olwo bwe yeyogereza
Ako akasajja kajozi, Mamdani kasajja kajozi nyo!
Naye Nze nalongo tekajya kundetako jjogo lyako

Namulengerera eli, olwo yeyambudde, nga gamulengegya anga a gembwa…Amabbere…
ade enno bwadda eli, bwadda enno bwadda eli
Atte njakubajilamu na kapale kange!
Ako akasajja kajozi, Mamdani kasajja kajozi nyo!
Naye Nze nalongo tekajya kundetako jjogo lyako era nkalaze obukunya okufungula ejjogo elyo

Oluyombo lwa Sitella ne Mamdani (akasajja ako!) luwanvu nyo
Ojja kusomesa…! sijja kusomesa!
Ojja kusomesa nno…! Sijja kubisomesa yo!
Ohhh…Oh…!
Era naleka Sitela yewera nkolokoto
Nange kalutotola kye nalabako kye kyo

Ebikolimo bye nkoko tebiita kamunye, naye ebya Sitella, kabulakata bi giite!