Tuli bagenyi kunno, kunno kunno okwa jjaja nsi, tuli bagenyi
Sindika… sindika…bwe batwaniriza
Nga olwo nyoko atikulwa eby’omwezi omwenda
Laba bye yalya nga ‘asikina kati wunno afulumya asinda
Osooka ku kabba obugenyi bwo okukakasibwa, era gwe akabba, kulika
Kulika kulika nyo…banji banno olugendo lwe’nno te balutonda ku lumalako.
Omuto ayigira ku mukulu; ekyo tokikola kola bwoti…kiri kirungi…ekyo kibbi
kileke…manye ki ndeke ki…otegedde gwe ana nyumirwa obugenyi
Okunyumirwa kwo nyumirwa… ebya kunno, bya kuffa kuleka kunno!
Atte si buli mugenyi nti anyumirwa, so no kunyumirwa si kuli mubungi bwa bintu
atta alina kantu, na alina enkummu, kubugenyi bunno obulamu kye kikulu… obulamu
kye kikulu… obulamu kye kikulu… obulamu kye kikulu
Tuli bagenyi kunno, kunno kunno okwa jjaja nsi, tuli bagenyi