Kiki Ekyatta Museveni!

Kyali kitalo, kitalo nyo ekya Museveni okuffa…kyalo kitalo, kitalo nyo…
Ye banange, kiki ekyatta Museveni!

Yatandika ali muto okukola ebya’afayo.
Aba’aliyo batugamba nti ne mubutobwe teyali wa bulijjo.
Yakula yemanyi, nga buli kyeyakolanga kyali kya kutikiriiza ekyo ye kyeli ye manyi ko
…so ekitali kya bulyommu…wabula ekya omu no’omu
…kyo ekya Museveni wamma, kyaali kyo omu

Wuyo wuyo mubuyeekera, nanti ebya kalulu ko mu kinana bya mulema kubba munne kawenkene Obote yali tanakoowa buwomi bwa ntebbe…
Olutalo lwe mundu…bwe du, du, du…nkumu balumaliriza baffu…ko’ eyali Ssabaduyi Museveni… nsi egula mirambo…ngali ku ntiko

Myaka enna gimala (*2)…ekizibu kya Africa be bakulembeze baffe okulemera mubuyinza…tu two mugwe kyendda, kyendda mu mukaaga, era yomu, nkumi biri mu gumu, era yomu ono, “ekizibu kya Africa be bakulembeze baffe okulemera mu buyinza.”

Ehh…Ehh…tabikyusiza…ah…ah… (olwo’ananagira)…nze nali ntegeza bali abe’elemeza mubuyinza…gumu, gumu gwoka nga maliriza…gumu gwoka gwenbasaba…

Gwe waviira olumbe lwe kisanja!…wuuwi woowe (*2)…olumbe lwe kisanja lwatta Museveni!…Abataagala tubejjeko!…Ssematekka tumukyuse obuwayiiro!…Nze ndi wa kufuga awatali kommo!
Eyali amanyi ekizibu, labba nafuka ekizibu…oooo…oh

Kitalo, kitalo nyo…twagirwa olumbe lwe kisanja lunno olulemeza no muffu mubuyinza…kitalo, kitalo nyo
Ye Museveni yaffa, yaffa dda, yafiira dala…olumbe lwe kisanja olutakoma lwamutta.

Advertisements

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out /  Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out /  Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out /  Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out /  Change )

Connecting to %s